Amawulire

Ababaka bakkiriza poliisi eweebwe obuwumbi 4.6 okugula embwa

Ababaka bakkiriza poliisi eweebwe obuwumbi 4.6 okugula embwa

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka bakkiriza ekiteeso ekyokuwa ekitongole kya Uganda Police obuwumbi bwensimbi 4 nobukadde 600 ez’okugula embwa eziwunyiriza mu kawefube wókulwanyisa obumenyi bw’amateeka n’okunoonyereza.

Ekiteeso kya ababaka kyaleeteddwa omubaka Rosemary Nyakikongoro, Ssentebe wa kakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda, bwe yabadde ayanjula alipoota ku kiwandiiko kya baminisita ku nkola ya Poliisi, ekyalaze nti omuwendo gw’obumenyi bw’amateeka gweyongedde mu Uganda, n’agamba nti embwa zigenda kuyambako mu kuyamba poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

Yategeezezza Palamenti nti Poliisi yeetaaga obuwumbi 40 n’obukadde 569 okusobola okwanguyirwa okunoonyereza, n’agattako nti ku kigero, omusango gw’obumenyi bw’amateeka ogw’amaanyi gwetaaga obukadde bwensimbi za Uganda 15 ogunonyerezaako obulungi, era poliisi ewandiisa emisango 40,000 eminene buli mwaka.

Poliisi era eyagala okufuna emmotoka empya ezilawuna mu disitulikiti zonna, ezamagye ne Pikipiki ku buwumbi 79 wabula nga mu mbalirira baweereddwa obuwmbi 59.7

Akakiiko era kaawa amagezi abasirikale ba poliisi okwongeza emisaala gikwatagane negyamaggye