Amawulire
Mayiga asabye bannamateeka okuyambako abakyala nábavubuka mu byámateeka
Bya Prossy Kisakye,
Kamala byonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye bannamateeka mu ggwanga okutwala empeereza yabwe eri omuntu wansi naddala abo abenkizo.
Okwogera bino abadde asisinkanyemu bannamateeka okuva mu kibiina ekibagatta ekya Uganda Law Society, abakyaddeko e Mbuga enkya ya leero.
Ono agambye nti bannamateeka kibakakatako okulaba nti bayigiriza amateeka eri abavubuka nábakyala ate nókubayamba webeetaagira obuyambi obwekikugu.
Bannamateeka nga bakulembedwamu pulezidenti wabwe Bernard Oundo, basuubiziza katikiro okulaba nti batuusa empereza esaanidde eri bonna abetaaga okuyambibwa mu byamateeka.
mungeriyemu Mayiga avumiridde engeri eyóbukambwe ate eswaza poliisi gyeyakuttemu ababaka ba palamenti abakyala ababadde beekalakaasa nga bawakanya okutulugunyizibwa ba RDC ne poliisi mu bitundu gye bakikirira ne batuuka nókubalemesa okutegeka emikolo gyábakyala.