Amawulire
South Sudan yetaaga obuyambi bwa Uganda.
Ababaka ba palamenti basabiddwa okuwagira enteekateeka z’amaggye ga gavumenti okubeera mu ggwanga lya South Sudan.
Bw’abadde alabiseeko maaso ga babaka ba palamenti , minista w’ebyokwerinda Crispus Kiyonga ategezezza nga gavumenti bw’eteetumikiriza kutwala maggye mu south sudan wabula waliwo ensonga.
Agamba anaggye gayamba mu kujja bannayuganda abakyatubidde e Juba, nga n’omukulembeze w’eggwanga lya South Sudan Salva Kiir yasaba mukulu munne Yoweri Kaguta Museveni ayambe okukuuma emirembe mu ggwanga eryo.
Ono era ategezezza nga bwebalina okuyamba ku South Sudan okwewala abayeekera okuvuunika gavumenti eyalondebwa abantu.
Ono era ategezezza nga bannayuganda abasoba mu 1000 bwebakaddusibwa okufa mu bifo ebirimu olutalo era nga wakyaliyo abalala.
Bbo abanonyi b’obubudamu abasoba mu 4000 beebakesogga Uganda okuva mu south Sudan.