Amawulire
Okuwulira okusaba kwokweyimilirwa kwa Minisita Nandutu kwongeddwayo okutuusa enkya
Bya Ruth Anderah. Ekiwayi kya Court Enkulu etuula e Kololo ekilwanyisa obukenuzi kyongeddeyo okuwulira okusaba kw’okweyimilirwa okwatwalibwayo Minisita Omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agness Nandutu okutuusa enkya ku lwokuna nga 04/05, ku saawa taano ez’enkya.
Kooti okutuuka okusalawo bweti, bannamateeka b’oludda oluwaabi basoose kulaga omulamuzi obuzibu bwebagenda okusanga okukomyawo Minisita Nandutu mu mbuga, oluvanyuma ono lw’okubawa akaseera akazibu okuva lweyayitibwa okweyanjula eri ab’eby’okwerinda abaali banoonyereza ku fayito y’omusango gwe nga tannewaayo eri Poliisi.
Oluuda oluwaabi nga luyita mu muwaabi wa gavumenti Jonathan Muwaganya lutegeezezza Kooti nga Nandutu okuva lwebamuyita nagana okulabikako natuuka n’okusuulawo amaka ge agasangibwa e Nantabulirirwa e Mukono, kabonero akooleka nti singa anayimburwa, ayinza okuddamu neyekukuma.
Muawaganya ayogedde okutegeeza omulamuzi nga Minisista Nandutu bwatakoma kwekyo wabula n’amasimu ge gonna 3 agamanyiddwa yagajjako, abakuumi be n’emotoka y’omulimu byonna nabisuulawo nasalawo okwekukuma okutuusa omwogezi wa Poliisi mu gwanga bweyayisa ekilagiro nto yali yetaagibwa nga kino kyakolebwa 17th/April; mu lukiiko lwabbanamawulire.
Ekyo kyekyamuwaliriza okuva gyeyali yekukumye alyoke yeweeyo eri ekitebe ky’abambega enkeera nga 18th/ April/2023.
Wabula ebyo nga tebinabeerawo, Kooti yemu esoose kulonda abantu 3 okuva mu bantu babulijjo okutunuulira ebigenda mu maaso mu musango oguvunaanibwa Minisita Agnes Nandutu guno nga gwekuusa ku kibba mabaati agaali ag’abantu b’e Karamoja.
Minisita Nanduutu, leero akomezebbwawo mu Kooti okuva mu komera e Luzira gyeyasindikibwa nga 19/04 okutandika okuwozesebwa n’okuwulira okusaba kw’okweyimilirwa nga bweyasaba ng’ali mu komera e Luzira.
Abalondeddwa kuliko Sarah Namayanja, Joanitah Rose ne Lubega Robert Sseguya.
Omulamuzi Jane Kajuga Okuo yali mu misango gy’omusango guno.
Kigambibwa nti Minisita Nanduutu nga mubaka mukyaala okuva e Bududa yenyigira mu kubba amabaati 2000 nga gaali g’abantu b’e Karamoja ekyaviirako okufiiriza gavumenti.
Oluuyi oluwaabi nga lukulembeddwamu David Bisamunyu ne Jonathan Muwaganya lutegeezezza Kooti nga bino byonna bwebyaliwo wakati w’omweezi gw’omukaaga omwaka 2022.
Kati Omulamuzi ataddewo olwa nga 25/05 okutandika okuwulirirako omusango.