Amawulire

Eggwanga lisattira lwa mbeera ya bigwa bitalaze olw’enkuba efudemba

Eggwanga lisattira lwa mbeera ya bigwa bitalaze olw’enkuba efudemba

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2023

No comments

Bya basasi ba Dembe. Sipiika wa Parliament Anita Among asabye government okutondawo akakiiko akagenda okukola ku bibamba n’ebigwa bitalaze.

Akakiiko kano kakusobola okutema amakubo butya ebibamba ebigwawo n’okulaba butya bwebigonjoorwa ate mu bwangu okwetoloola eggwnaga lyonna.

Kiddiridde enguudo mu bitundu ebimu eby’eggwanga okwabuluzibwamu amazzi n’okubumbulukuka kw’ettaka.

Embeera eno elese ng’abantu bangi bafudde ate abalala tebalina na webegeka luba ate nga abasinga tebalina na kyakulya.

Sipiika Among agamba nti ebitundu by’eggwanga bingi bisuliridde akaseera akakatayabaga n’enjala ani amuwadde akatebe olw’amataba n’ekyeya.

Ono kati ayagala Ministry y’ebigwa bitalaze okwanguyaako alipoota ennyonyola embeera eri mu gwanga bwekituuse ku katayabaga akabaluseewo olw’enkuba efudemba n’okutegeeza banna Uganda enteekateeka eziriwo okuvuunuka okusommozebwa okuliwo.

Namutikwa w’enkuba afudemba alese ng’ebintu ebiwerako bisanyiziddwawo okwetoloola ebitundu by’eggwanga nga n’awamu amakubo gasaliddwako.

Okusinziira kunoonyereza okukoleddwa ekitongole ekiduukirize ki Uganda Redcross, abantu abasoba mu 18 baluguzeemu obulamu ate abasoba mu mutwalo mulamba mu 3000 nebabunda bunda.

Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko district y’e Kanungu eno ng’abantu 3090 basuddewo amayu gabwe, e Ntoroko bali 1500, e Kasese bali 1132, e Kayunga bali 668, e Kisoro bali 1200, e Katakwi 3232 ne Bulambuli 3073.

Mu district okuli Bundibujo, Buduuda ne Rukungiri, eno waliyo abantu abawuliddwako nga balusuddemu akaba.

Irene Nakasiita ayogerera ekitongole ekidukirize agamba nti bakyagenda mu maaso n’okwetegereza embeera naddala etuusiddwawo amataba n’ekibumbulukuka ttaka mu bitundu eby’enjawulo eby’eggwanga.

Olunaku lwa ggyo welwazibidde nga abakungu okuva mu kitongole ekivunanyizibw aku nguudo mu gwnaga ki UNRA nga kilagidde okuggalibwawo kw’oluguudo oluva e Kable- Rubanda okutuuka e Kisoro oluvanyuma lw’ekitundu ekimu ku luguudo olwo okugwamu olw’enkuba.

Oluguudo luno lwelumu, lugatta Uganda ku mawanga amalala agomuliraano okuli DRC nga luyita e Kyanika okutuuka e Bunagana.

Akulira ettabi lya UNRA e Kabale Eng Alison Abenabo agamba nti eby’entabula mu bitundu bino kati bikyusiddwa okudda ku luguudo oluva e Kable- Katuna- Rubaya- Muko- Kisoro okutuusa nga bamaze okudaabiriza ekitundu ekyayonooonese ku luguudo luli.