Amawulire

Abakyala bavumiridde engeri poliisi gyeyakwatamu ababaka abakyala

Abakyala bavumiridde engeri poliisi gyeyakwatamu ababaka abakyala

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekitaba obukulembeze bwa bakyala mu bibiina byóbufuzi ebyenjawulo, ekya Inter-party Women’s Platform kyagala gavumenti evunaane abaserikale ssekinnoomu abatulugunya ababaka ba palamenti abakyala ab’oludda oluvuganya gavumenti abaali beekalakaasa olw’okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya.

Ababaka bano baaali bategese okukumba okuva mu palamenti okutuuka mu ofiisi y’ensonga z’omunda muggwanga okutwala okusaba kwabwe nga bawakanya ekya ba-RDC ne poliisi okulemesa ebikujjuko by’olunaku lw’abakyala byebaba bategese mu disitulikiti zaabwe.

Wabula poliisi teyabaganya ku kya kigere ku palamenti ekintu abalwanirizi be ddembe bangi kye bavumirira nga bagamba nti waliwo n’okukozesa amaanyi agasukkiridde.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi za The Alliance for National Transformation-ANT e Bukoto, akulira abakyala mu DP, Aisha Waligo avumiridde enkola ey’obukambwe poliisi gyeyayolesa ku babaka bano abaali bambadde engoye z’ebyobuwangwa ng’asaba abakwatibwako okuvunaana abaserikale ssekinnoomu abatassaamu kitiibwa mu abakyala bano.

Mungeri yeemu agamba nti bateeseteese okusisinkana ne minisita w’obwenkanya ne ssemateeka wamu n’omuduumizi wa Poliisi ku nsonga y’emu.

Ekibiina kino mwegatiramu abakulembeze ba bakyala okuva mu bibiina byobufuzi ebiwandiise mu mateeka 9 okuli Democratic Party, Forum for Democratic Change, National Resistance Movement, Justice Forum, Uganda People’s Congress, ne Alliance for National Transformation n’ebirala.