Amawulire
Entekateeka ez’okuziika Minisita Engola ezigenda mu maaso
Bya Julius Onen,
Enteekateeka z’okuziika minisita abadde avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi, Charles Engola, ziri mu ggiya, ng’aba famire basuubira abakungubazi abasoba mu 10,000 ku mukolo guno.
Mu kiseera kino, amaka g’omugenzi gali mu ketalo nga abooluganda n’emikwano bateekateeka okuwa omugenzi okusibula okusaanira.
Jacob Okello, omukulembeze w’ekika ky’omugenzi agamba nti ebikolebwa mulimu; okuyonja ekibangirizi, okukung’aanya enku ez’okufumba n’okukungaanya ebyetaagisa okuva mu batuuze era agamba nti okufa kwa minisita kugasse abantu b’e Lango.
Ate omubaka wa Palamenti owa Kole South, Peter Ocen Akalo agamba nti abantu babadde bawaayo emmere n’ebintu ebitali ebikalu okuwagira kaweefube w’okubeera n’okuziika okutegekeddwa obulungi.
Omugenzi wa kuziikibwa nga May 13.
Engola yakubiddwa amasasi ku makya g’Olwokubiri omukuumi we mu maka ge e Kyanja mu bitundu by’e Kampala.