Amawulire
Minisitule y’eby’entambula etaddewo olugedo lw’okumazzi eri abo abagenda n’okuva e Masaka okujja e Kampala
Bya Mike Sebalu. Minisitule ekola ku by’enguudo elangilidde nga bwetaddewo emmeeri ziyambeko okusaabaza abantu okubajja ku mwaalo e Bukakata Masaka okubatuusa e Nakiwogo –Entebbe n’okubajja e Nakiwogo okubatwala Bukakata ng’okubakendeereza ku lugendo lw’okukozesa kolaasi olulabise nga luwanvuye.
Olugendo luno lwakusasulirwa shs 15000 zokka ng’emeeri esooka yakusimbula leero e Nakiwogo ku saawa 7 ez’emisana ng’olugendo lwakugitwalira essaawa 3 n’ekitundu.
Olunaku lw’enkya, emeeri eno yemu yakusimbula kumakya ku saawa 2 e Bukakata okujja e Nakiwogo gyesuubirwa okutuuka ku saawa nga 7 ogw’emisana.
Waliwo n’emeeri y’emigugu eno ng’ejja kuyitira nga Kalangala n’oluvanyuma yeyongereyo e Bukakata.
Sadala Musoke nga y’akulira kampuni ya Nation Oil Distributors Ltd abakola omulimu gw’okulabilira emeeri ya MV Kalangala ne MV Nodil ezigenda okukozesebwa mu ntambula eno, agamba nti kino bagenda kukikola okumalira ddala sabiiti namba nga bwebongera okwetegereza obujjumbize bw’entambula eno.
Mustapha Mayambala owa Federation of Uganda TAAXI Opetarors agamba nti ekikoleddwa gavumenti kilungi wabula n’asaba entambula eno okufuulibwa ey’olubeerera kikendeze ku mujjuzo gw’abantu ku makuno.
Agamba nti nga bbo aba taxi tekigenda kubakosa kuba bakusigala nga basaabaza abantu okubatuusa mu bifo by’emyalo webagenda okulinyira emeeri zino ate n’okubajja wezinabateeka okubayingiza ebibuga gyebagenda.