Amawulire

Akakiiko mu maka ga pulezidenti akalwanyisa enguzi kakutte 4 mu bitundu by’ekigezi

Akakiiko mu maka ga pulezidenti akalwanyisa enguzi kakutte 4 mu bitundu by’ekigezi

Ivan Ssenabulya

May 17th, 2023

No comments

Bya Robert Muherezi. Akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Statehouse Anti-Corruption Unit, kaliko abakozi ba district ez’enjawulo mu bitundu bya Kigezi 4 bekaakutte  ku misango egykuusa kukozesa obubi offisi, okufiiriza gavumenti gattako okwenyigira mu kubulankanya ensimbi za gavumenti.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Kigezi Elly Matte agamba nti abakwate kuliko Denis Twesigomwe nga ye Engineer wa district y’e Rubanda, David Otika akulira by’amazzi mu district yemu eye Rubanda, Spence Ngabirano nga Enginer wa Town Council y’e Ryakarimira mu district eye Kabale gattako ne Eric Mutumba okuva mu district y’e Kanungu gy’akola nga Enginer w’ebyenguuso.

Bano bonna bakuumirwa ku kitebe kya Poliisi e Kabale nga enteekateeka bwezikolebwa bano okuletebwa e Kampala bongere okubanoonyerezaako.

Bano bonna babakwatidde ku kitebe kya district y’e Kabale gyabayitiddwa ekilindi okubaako byebanyonyola ku ngeri ensimbi za gavumenti gyezakozesebwamu mu egyo emilimu gyebavunanyiizbwako obutereevu.

Sabiiti ewedde, Minisita Omubeezi alaondoola eby’enfuna by’eggwanga mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Beatrice Akello Akori, ng’ali wamu n’abakugu okuva mu aka g’omukulembeze ‘weggwanga, yalambula emilimu egy’enjawulo egiteekebwamu gavumenti ensimbi mu bitundu bya Kigezi, gyebazuulira emilimu egikoleddwa mu ngeri eyagadibe ngalye.

Mu gino mwemwali okuzimbibwa kw’enyumba z’abakozi ku kitebe kya town Council y’e Ryakarimira, ku dwaliro lya Mpungu Health Centre III wamu ne Bushura gravity flow scheme eno nga y’amazzi agava mu ttaka ku kitebe kya district e Rubanda n’endala.

Minisita eno gyeyasinziira nalagira akakiiko kano akalwanyisa enguzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga okukola okunoonyereza ku milimu egyo egitasanyusa bwebagigerageranya n’ensimbi ezizisasanyiziddwako era mu bwangu ddala bakwatibwe era baggurweko emisango.