Amawulire

Abalamazi basabiddwa okugoberera amagezi g’abébyókwerinda mu kusomoka Katonga

Abalamazi basabiddwa okugoberera amagezi g’abébyókwerinda mu kusomoka Katonga

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2023

No comments

Bya Gertrude Mutyaba ne Prossy Kisakye,

Abalamazi abakozesa oluguudo oluva e Masaka-Kampala basabiddwa okugondera ebiragiro bya poliisi nga basomoka olutindo ku mugga Katonga olwa kaseera olwatereedwawo basobole okutuuka gye balaga.

Ekitongole kye byenguudo ekya Uganda akawungeezi kajjo kyakakasiza nga bwebazimbyewo olutindo lwa batambuza ebigere okusobozesa abalamazi okuyitawo.

Kino kidiridde ekibinja kya balamazi 75 okuva mu kigo kye Kakoma e Isingiro okukonkomalira e Kalungu olwo lutindo olwa gwamu oluvanyuma lwomugga Katonga okubooga.

Oluvannyuma lw’okutambula kiromita ezisoba mu 220, abalamazi abasimba amakanda e Lukaya baategeeza nti si bakudda mabega gyebaava oba okukozesa oluguudo lwa Ssembabule okudda e Mpigi.

Bwabadde ayogerako ne kibinja kyábalamazi bano nga tekinasomoka Katonga, amyuka addumira poliisi mu kitundu kye Katonga, Osele Jimrol, abasabye okugondera ebiragiro ebinabaweebwa abebyokwerinda okulaba nti basomoka teri afunye buzibu.

Mungeri yemu George Ssonko, akulira ekitongole kya UNRA mu Katonga, alabudde abatambuze obutakozesa lutindo luno nakikatiriza nti lwakolebwa kusomosa balamazi bokka okuva mu bitundu ebyobugwanjuba bweggwanga

Aba UNRA era bakakasiza nti mu bbanga lya ssabiiti 3 bagenda kuba bamaliriza okuzaawo olutindo olwa bomoka.