Amawulire
Omukulembeze wa America avumiridde ekya Museveni okusa omukono ku Tteeka
Bya Rita Kemigisa,
Etteeka ku kulwanyisa obuli bw’ebisiyaga mu ggwanga likyagenda mu maaso n’okwongeza bannauganda n’abazungu ebitakwatagana.
Etteeka eryateekebwako omukono omukulembeze weggwanga liwa ekibonerezo ekyokufa eri omuntu yenna asingisibwa omusango gwokusiyaga omwana atenatuuka, omuntu aliko obulemu ku mubiri, oba okusiiga siriimu oba ekirwadde ekirala omuntu asiyagiddwa.
Kati omukulembeze weggwanga lya America, Joe Biden yoomu kubavudeyo okuvumirira etteeka lino
Biden agambye nti lityoboola eddembe lyobuntu era atiisatiisiza okusalako Uganda obuyambi bwe nsimbi nóbutadamu kusiga nsimbi mu ggwanga lino.
Okusinzira ku Biden, tewali muntu alina kubeera mu kutya olwobulamu bwe oba alina okusosolebwa olwembeera gyeyeyisaamu.
Nómukago gwa bulaaya ogwa European Union guvumiridde ekyomukulembeze weggwanga yoweri Museveni okuteeka omukono ku tteeka erirwanyisa ebisiyaga mu ggwanga.
Omukago guno gugamba nti etteeka lino lirimu ebibonerezo ebikakali enyo naddala ekyokuwanika omuntu kalamba tebakikkiriza.