Amawulire

Abalwanirira abalina akawuka batidde olwétteeka ku Basiyazi

Abalwanirira abalina akawuka batidde olwétteeka ku Basiyazi

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Abalwanirira abantu abawangala nakawuka ka mukenenya batidde nti etteeka eppya erirwanyisa obuli bwe bisiyaga mu ggwanga ligenda kufeebya ebibadde bitukidwako mu kawefube wokulwanyisa akawuka ka siriimu wetunatukira mu mwaka gwa 2030.

Eggulo, mu kiwandiiko eky’awamu, ebibiina bisatu ebikulembedde mu nsi yonna mu kampeyini z’eby’obulamu okuli ekya Pepfar, UNAids ne Global Fund balabudde nti enkulaakulana mu kulwanyisa akawuka ka siriimu eri mu kabi ak’amaanyi oluvannyuma lwa pulezidenti Museveni okuteeka omukono ku tteeka eppya erirwanyisa ebisiyaga.

Akulira ekibiina kya International Community of Women Living with HIV in East Africa, Lillian Mworeko agamba nti etteeka lino ligenda kwongera okunyooma n’okusosola mu bantu abanoonya obuyambi bwa siriimu mu bifo eby’obulamu.

Bino yabyogeredde mu mpaka za F.I.E.R.C.E (Fighter, Intelligent, Empowered, Resilient, Courageous and Excelling) Awards ezitegekebwa buli mwaka olunaku lweggulo.

Engule zino zisiima abakyala abasukkulumye ku balala abalina akawuka ka siriimu.