Amawulire
Bannakyewa basabye Gavt ku mateeka agakuuma abaana
Bya Malik Fahad,
Nga Uganda olunaku lwa leero yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lwómwana wómudugavu, bannakyewa abali mu kulabirira abaana basabye govumenti enteeke munkola amateeka agaliwo mukukuuma eddembe ly’abaana.
Bano nga bakulembedwamu ekibiina ki Child restoration outreach (CRO) e Masaka, akikulira Addah Nkorenta, agambye nti obutateekesa munkola mateeka ky’ekimu ku bivudeko okweyongera okutyoboola eddembe ly’abaana muggwanga ekisindikiriza abamu okweyiwa kunguudo.
Nkorenta era agamba okusobola okumalawo okutulungunyizibwa kw’abaana buvunanyizibwa bwabuli sekinoomu.
Ye omutandisi wékibiina kino, Omusumba Paul Nabitiri, asabye government nga eyita ministry yekikula kyabantu ne ministry endala ezikwatibwako ensonga z’abaana okukwasizako ebitongole ku kulwanirira eddembe lyábaana.