Amawulire
Abébyókwerinda e Kasese bakutuula leero bateese ku bulumbaganyi obwakolebwa ku bayizi
Bya Prossy Kisakye,
Abakulembeze b’ebyokwerinda e Kasese baakusisinkana olunaku lwa leero ne bassentebe ba disitulikiti zonna mu bugwanjuba bweggwanga oluvannyuma lw’obulumbaganyi obwasse abantu ku ssomero lya Lhubiriha secondary school.
Obulumbaganyi obwabaddewo ku Lwomukaaga bwafiiriddemu abayizi 37 n’abantu abalala bataano nga kiteeberezebwa nti bwakoleddwa bayekera ba Allied Democratic Forces (ADF).
Abayizi 17 ku 37 baayokeddwa okutuusa kussa nga tebasobolwa kutegerekeka era ebisigalira byabwe byatwalibwa ku kitebe kya poliisi ku Mountain Division e Fort portal nga bwe balindirira okukeberebwa endaga buttoned.
Omubaka wa gavumenti atuula e Kasese Lt. Joe Walusimbi, ategezeza Dembe FM nti embeera mu kitundu yazze munteeko nga ne ggye lye ggwanga erya UPDF bwelilondoola omulabe.
Agambye nti leero bakusisinkana ba ssentebe ba zi disitulikiti nábebyokwerinda mu bitundu okukubaganya ebirowoozo ku butya bwebagenda okwongera okunyweza ebyókwerinda kiwe abatuuze obwesige ku bukuumi bwabwe.
Walusimbi asabye abatuuze mu kitundu okusigala nga bakakamu ate batunule nkaliriza eri omuntu omupya era gwebekengera bamuloope mu bóbuyinza.
RDC era akakasiza abazadde abatanafuna baana babwe nti gavumenti egenda kukola endaga butonde ku mirambo gyábayizi 17 awatali kubagyako nsimbi ate nómuyigo gwabo abawambiddwa abayekera gugenda mu maaso.
Abantu basatu beebakwatibwa kubyekuusa ku bulumbaganyi buno.