Amawulire

Omuwendo gwábasawo munsi yonna gwakukendera wetunatukira 2023

Omuwendo gwábasawo munsi yonna gwakukendera wetunatukira 2023

Ivan Ssenabulya

June 23rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byobulamu ekyensi yonna ki World Health Organization kirabudde nti wetunatukira 2030, ensi egenda kuba ne bbula lya basawo ba bukadde 10 olwembeera mwebakolera kati embi nómusaala omutono ogubamalamu amaanyi,

Ekibiina kino kigamba nti amawanga mangi gatandise okufiirwa abasawo olwembera embi mwe bakolera ne basalawo okunonya emirimu emirala.

Aba WHO bagamba nti mu kukuza olunaku lwa bakozi ba gavumenti olwomulundi ogwe 12 mu Africa, gavumenti zirina okuteeka essira kunsonga ezibanyigiriza.

Mu Uganda embeera era si nnungi nga abasawo buli kadde bateeka wansi ebikola olwa nsonga zezimu eziruma abalala.

Kati aba WHO bagala abasawo bongezebwe emisaala nokulongoosa embeera mwe bakakalabiza emirimu gyabwe mu kawefube wokutukiriza ebigendererwa bye nkulakulana kunsonga ze byobulamu.