Amawulire
Poliisi e Tororo ekutte abantu 5 ku by’okubba emmundu okuva ku Musirikale
Bya Daily Monitor,
Poliisi mu disitulikiti y’e Tororo ekutte abantu bataano abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka abeekuusa ku kunyaga emmundu okuva ku musirikale wa Poliisi, Godfrey Ojiambo eyeegattira mu kibiina kya VIPPU (CT) ku nsalo y’e Malaba wansi w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority.
Poliisi tennaba kwogera mannya ga bakwate kuba ekyayigga abalala.
Omwezi guno nga 10 ababbi abatanategerekeka nga bakwataganye ne bissi okuli enyondo ne jjambiya baalumba omuserikalene bamukuba ku mutwe ekyamuviirako okugwa wansi naazirika ne bamuggyayo emmundu ye bwe yali ku mirimu gye.
Okusinziira ku poliisi emmundu eno yazuulibwa nga 26th June 2023 ku kyalo Bison “B”, Maguria mu kibuga kye Tororo mu Disitulikiti y’e Tororo.
Johnson Moses Mugwe, omwogezi wa poliisi mu Bukedi South agamba nti ttiimu y’ebyokwerinda ey’awamu ng’eyambibwako abantu b’omu kitundu be bazudde emmundu eno nebakwata nábateberezebwa okukola ekikolwa kino.
Okunoonyereza kukyagenda mu maaso.