Amawulire
Palamenti eremedde ku bye South Sudan
Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ebyokwerinda kalagidde gavumenti okulaga endagaano gyeyakola n’eggwanga lya South Sudan ku ky’okusindikayo abajaasi
Kino bakituseeko bwebabadde bakubaganya ebirowoozo ku ndagaano eno
Ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti beetaga okumanya byonna nga bwebiri, ensimbi ziva wa, era nga ani asasula abajaasi abasindikibwayo
Ababaka okubadde Saleh Kamba, Ibrahim Ssemujju, Mohammed Kivumbi ne Simon Mulongo bagamba nti beetaga okwetegereza buli kimu bafune n’amagezi okuva mu bannamateeka
Ggo amaggye g’eggwanga gagaanye okubaako nekyegagatta ku byayogeddwa pulezidenti Museveni nti abajaasi ba Uganda battiddwa mu kulwanagana okuli e South Sudan.
Omwogezi waago, Paddy Ankunda agamba nti tekikkirizibwa mu mateeka agabafuga kyokka n’ategeeza nga bwebafuba okununula bannayuganda abali e Bor nga bakajjayo abasoba mu mitwalo omusanvu