Amawulire
Alizaati ku kyasse abafamile bana e Kayunga zifuluma leero
BYA FRED MUZAALE,
Ebyava mu kukeberebwa ku bulwadde obutta abantu obw’ekyama obwazuulibwa mu disitulikiti y’e Kayunga bisuubirwa olwaleero okuva mu kitongole ekinoonyereza ku kawuka ekya Uganda Virus Research Institute.
Sampo zaggyiddwa mu mirambo gy’abantu bana abaafudde mu bulwadde obw’ekyama ku kyalo Kayonjo mu Town Council y’e Busaana mu disitulikiti y’e Kayunga.
Akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Kayunga, Dr. Ahmed Matovu agamba nti abana bonna baali ba famire emu nga babeera ku kyalo Kayonjo mu Town Council y’e Busaana.
Dominic Okumu, ssentebe w’ekyalo Kayonjo agamba nti babiri ku baafa nga July 5 ate abalala baafa mu kiro ekya July 6, era nga balina obubonero omuli omusujja omungi, okusesema n’ekiddukano.
DHO agamba nti abaana abato bana okuva mu maka ge gamu baweereddwa ekitanda mu ddwaliro e Kayunga nga bali mu mbeera mbi.