Amawulire

15 bafiiridde mu kabenje

15 bafiiridde mu kabenje

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu

Poliisi ekakasizza ng’abantu 15 bwebafiiridde mu kabenje dekabuse akaguddewo ekilo kya leero ku luguudo oluva e Fortportal okugenda e Kagadi.

Akabenje kano kabaddemu motoka ya taxi ne lukululama nga kagudde mu bitundu ebililaniganye omugga Rwizi.

Ayogerera Poliisi mu bitundu bya Albertain Julius Hakiza atubuulidde nti abafudde bonna babadde mu motoka ya taxi kyokka nga waliwo n’abalala 4 abali obubi ennyo mu malwaliro ag’enjawulo gyebaddusiddwa okufuna obujanjabi.

Hakiza agamba nti ebyakazukawo bilaga nti lukululana yagaanyi okusiba nefundikira ngeyingiridde taxi ku saawa nga 2 n’ekitundu ez’ekiro.

Agamba nti kyebali mukukolako kwekuzuula amannya g’abagenzi n’abenganda zabwe emilambo okusobola okuwebwayo bagiziike.

Kano kekabenje akakyasembyeyo okutta abantu nga ku lunaku lwa sande abantu abalala 05 nabo bafiiridde mu kabenje akagudde mu bitundu bye Agwata ku luguudo oluva e Kamdini okugenda e Lira mu district eye Dokolo.

Okusinziira ku mubaka wa gavumenti mu district eye Dokolo Barbra Akech, dereeva wa motoka ya taxi eyalabise nga yabadde mu mbeera mbi yalemeredde omugoba waayo neyevulungula emilundi egyawezeeko.

Obubenje buno bujidde mu kiseera nga Parliament yayisizzawo ebilagiro ebijja eri Ministule ekola ku by’enguudo okwanguwako okukola enongosereza mu teeka ly’okumakubo okuteekamu obuwayiro obujja ebimotka ebifiiridde ku makubo okwewala obubenje obukudde ejjembe.