Amawulire
America erabudde Bannansi baayo abali kuno ku butujju
Bya Mike Sebalu,
Ekitebe kya Amerika mu Uganda kirabudde nti “wakyaliwo okutiisibwatiisibwa kw’obulumbaganyi bw’abatujju mu Uganda ne mu kitundu kyonna ekya East Africa.
Ekitebe kya Amerika era kitegeezezza bannansi ba Amerika abali mu Uganda okubeera obulindaala n’okwewala enkung’aana ezirimu abantu abangi nga waakayita olunaku lumu nga poliisi eremesezza obulumbaganyi ku kanisa ya Rubaga Miracle Centre, eddukanyizibwa Omusumba Robert Kayanja.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza mu lukung’aana lwa bannamawulire olutuula buli wiiki nti omuvubuka ow’emyaka 28 ateeberezebwa okutega boomu ku kanisa eno abali mu taano.
Mungeri yemu Poliisi nga eriwamu nebitongole ebiteguluzi bya bomu baliko ebintu ebiteberezebwa okubeera bomu byebateguludde mubitundu ebyenjawulo mu kibuga kamapala
Okusinziira kumwogezi wa poliisi yeggwanga Fred Enanga, agambye nti ekimu bakizudde mubitundu ebye Bunnamwaya mukifo ekisuza abayise ate nga ekirala kiteguluddwa mukifo ekiyitibwa Mabiito nga kisangibwa mu Nateete
Kati kiwezeza omuwendo gwa bomu enkolerere ezakategululwa okulinya negutuuka ku 6