Amawulire

Aba DP basabye UNEB okukuuma ebigezo

Aba DP basabye UNEB okukuuma ebigezo

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kiwadde ekitongole ekitegeka ebigezo byábayizi mu ggwanga ekya Uganda National Examination Board-UNEB omulimu okulaba ng’ebigezo byonna bikuumibwa bulungi okwewala okumalamu abazadde nábayizi amaanyi.

Eggulo ebigezo bya siniya eyókuna byatandise mu masomero gonna okwetoloola eggwanga. Bino bigenda kuddirirwa ebya P.L.E ne UACE omwezi ogujja.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina mu Kampala, Akola nga omwogezi wa DP, Ismael Kirya, ategeezezza nti emyaka egiyise wabaddewo emisango gy’okubba ebigezo ekivirako ebivudde mu bigezo okukwatibwa ekitongole kya UNEB.

Kirya agamba nti mu misango gy’Okubba ebigezo UNEB yesanye okuvunaanibwa kubanga be bategeka ebigezo, n’okubitambuza mu bitundu by’eggwanga byonna.

Bwatyo asabye nti singa omwaka guno wabaawo emisango gya masomero agenyigidde mu muze gwokubba ebigezo, abazadde tebalina kubonerezebwa nga UNEB ekwata lizaati zábaana babwe ate nga beebalemererwa okukola ogwabwe.