Amawulire

Banka Enkulu esabiddwa eveeyo ku bubbi bwénsimbi mu mabanka

Banka Enkulu esabiddwa eveeyo ku bubbi bwénsimbi mu mabanka

Ivan Ssenabulya

October 23rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED, kitadde Bank ya Uganda enkulu kunninga eveeyo ebeeko kyekola ku bubbi bwensimbi za bakasitoma obuze bweyongera mu banka z’ebyobusuubuzi.

Obufere bwa bbanka buba mu ngeri ez’enjawulo okuva ku kukyusa ceeke, okukoppa kaadi za ATM n’okuggya ssente ku akawunti za bakasitoma mu ngeri etakkirizibwa.

Okulwanyisa emivuyo mu bbanka, amateeka agawerako gaateekebwawo mu Uganda kyokka n’okutuusa kati emivuyo gyeyongera.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina e Rubaga, omwogezi wa NEED, Moses Matovu, agambye nti Bank ya Uganda enkulu, erina okulaba ng’amateeka gonna agaayisibwa ku bukuumi bwa bakasitoma gateekebwe mu nkola.

Agasseeko nti bbanka enkulu erina okukangavvula bbanka z’ebyobusuubuzi ezikola emivuyo singa ziba tezisobola kufuga bakozi baazo ab’omunda abatera okukolagana n’abamenyi b’amateeka ab’ebweru okunyaga ensimbi za bannauganda ku akawunti.

Mungeri yeemu Matovu asabye palamenti okusitula eddoboozi ku muze guno songa n’ekitongole ekya consumer protection unit nakyo kisanye okuvaayo okulwanirira bannauganda kunsonga eno.