Ebyobulamu
Abe Gulu tebalina kyuuma kya kokoolo
Eddwaliro ekkulu e Gulu lyetaaga kyuuma ekikebera obulwadde bwa kokoolo.
Omubaka omukyala we Gulu, Aol Betty Acan gamab nti abantu abatwalibwa mu ddwaliro lino n’obulwadde buno bangi ate nga bangi babutegeera kikereezi olw’ensonga nti baba tebasobola kukeberebwa
Mu ngeri yeemu omubaka Acan agamba nti ddwaliro lino liri mu mbeera mbi teririna byuuuma bukozesebwa kyokka nga tebalina kya maanyi kyakukola.
Ono wabula agamba nti ng’yita mu kakiiko k’eby’obulamu kw’atuula wakwongera okupepereza banne okulaba nti bano bajjukirwa
Omubaka okwogera bino yabadde aggalawo omusomo gw’ennaku ebbiri ogw’abasawo n’abakulembeze w’ebitundu mu disitulikiti ye Gulu.