Ebyobulamu
Kumansa mpitambi
Abakulira ebyobulamu mu disitulikiti ye Wakiso, batabukidde abakulembeze ku byalo olw’obulagajavu eri abantu bebakulembera.
Abakulembeze bagamba nti abantu bamansa empitambi mu buveera nga tewali abakuba ku mukono gyebigweera ng’obulamu bwaabwe bwebuli mu matigga.
Akwanaganya eby’okugema abaana mu minisitule y’ebyobulamu Albert Kasozi Lule agambye nti abantu mu disitulikiti bakyeremereddwa okugenda mu malwaliro okufuna obujanjabi.
Alipoota okuva mu minisitule y’ebyobulamu eraga nti abantu 35 ku buli 100 beebakozesa amalwaliro okuzaala, bwegutuuka ku kabuyonjo abantu 58 ku buli 100 beebazirina ng’abalala beekuniza bwekuniza ssonga ng’ate abantu ebitundu 87 ku kikumi beebagema abaana baabwe.