Amawulire

Bannakyewa benyamidde olwa Gavt engeri gy’ekutemu olutalo ku Nguzi

Bannakyewa benyamidde olwa Gavt engeri gy’ekutemu olutalo ku Nguzi

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga Uganda yeetegekera okwegatta ku nsi yonna okujjukira olunaku lw’ensi yonna olw’okulwanyisa enguzi nga 9th December, ebibiina by’obwannakyewa biraze obwenyamivu olwa gavumenti okulemererwa okuteeka amateeka munkola agalwanyisa obulyake.

Olunaku luno lujjidde mu kiseera nga Uganda ekyasisinkana okusoomoozebwa okuwerako mu lutalo lwayo olw’okulwanyisa obuli bw’enguzi.

Okusinziira ku alipoota okuva mu kitongole kya Kaliisoliiso wa gavumenti, Uganda efiirwa obusse obusoba mu shs9 buli mwaka olw’obuli bw’enguzi.

Bwabadde mu lukung’aana lwa bannamawulire olw’awamu ku ofiisi z’omukago gwa Anti-Corruption Coalition Uganda-ACCU mu Kampala, pulogulaamu maneja okuva mu Uganda Debt Network, Christine Byiringo ategeezezza nti gavumenti okugenda mu maaso n’okulemererwa okussa mu nkola amateeka agaliwo ku kulwanyisa obuli bw’enguzi kiviiriddeko obubi bwensimbi zómuwi wómusolo okweyongera mu ggwanga ekikosa enkulaakulana.

Asabye gavumenti okukola ku bunafu obuli mu nkola y’amateeka naddala mu kujjako abalye byebaba babbye n’okukuuma abajulizi