Amawulire

Omubaka Malende alambudde ku basubuuzi bómu Owino

Omubaka Malende alambudde ku basubuuzi bómu Owino

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2023

No comments

Bya Ronald Ssenvuma,

Omubaka omukyala owa Kampala, mu lukiiko lwéggwanga olukulu, Shamim Malende agamba nti gavumenti essanye okusaawo enteseganya wakati w’abasubuuzi nayo okusobola okutema empenda kungeri yókumalawo obunkenke obuliwo mu basubuuzi b’omukatale ko Owino kubwananyini bwekifo ekyo.

Bwabadde alambula akatale kano ne mubitundu bya kampala ebyenjawuro okumanya n’okuzuula ebisomooza abantube naddala abasubuuzi abakolera mu kibuga, Malende agamba nti okusomozebwa okukyasinze yengeri gavumenti gyekwatamu abasubuuzi okuyita mu misolo ejibagerekebwako songa ne biffo jebakolera tebatebenkedde.

Omubaka Malende nga awayaako n’abasubuuzi mu katale ka owino agambye nti mu bwangu wasanye okubawo ekikorebwa.