Amawulire

Abakwatibwa ekirwadde kya siriimu e Bugiri beeyongedde

Abakwatibwa ekirwadde kya siriimu e Bugiri beeyongedde

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ng’eggwanga lyetegekera okujjukira olunaku lw’ensi yonna olwa mukenenya olunaku lw’enkya, abakugu mu by’obulamu beeralikirivu olw’omuwendo gw’abantu abapya abakwatibwa akawuka ka mukenenya ogweyongera buli lukya.

Avunaanyizibwa ku kulwanyisa siriimu mu disitulikiti y’e Bugiri Deogracious Mwondha, agamba nti kati omuwendo guyimiridde ku bitundu 3 ku buli 100, okuva ku bitundu bibiri ku buli 100 omwaka oguwedde.

Mwondha agambye nti abasinze okukosebwa bebavubuka abali wakati w’emyaka 18-23 nga kino kivudde ku bikolwa ebyóbwamaalaya ebyeyongedde mu disitulikiti ye Bugiri