Ebyobulamu

Mufu ssi mufu -kkooti eragidde agyibwe ku byuuma

Ali Mivule

January 27th, 2014

No comments

dead woman

Omukyala eyafuna obuzibu ku bwongo ng’ali lubuto kyaddaaki aggyiddwa ku byuuma ebibadde bimuyamba okussa.

Abasawo bazuula nti omukyala ono alina omusaayi ogwakwata ku bwongo era bwebatyo nebamussa ku byuuma okulaba nti asooka okuzaala omwana.

Omukyala ono ow’omu kibuga Texas ekya America wa myaka 33 ng’ali lubuto lwa wiiki 14

Ab’enganda ze beebaddukira mu kooti nga bagamba nti kuno kubonyabonya muntu waabwe ate nga bakimanyi nti yafa dda.

Abe’nganda ze nga bakulembeddwaamu bba bategeeza ng’omukyala ono abasawo bwebakizuula nti tasobola kuwona kyokka nebamulemeza ku byuuma ekinyize ennyo famile ye.

Bbo abe’ddwaliro baali bategeeza nti omwana yye bamusanga nga mulamu kale nga baali tebasobola kumuleka kufa nga balaba era bwebatyo kwekussa omukyala ono ku byuuma.

Omukyala ono aggyiddwa ku byuuma bino mu kiro ekikesezza olwaleero era nga kimaze okulangirirwa nti afudde n’omwana amubadde munda