Ebyobulamu
Senyiga w’ebinyonyi atabuse
Mu ggwanga lya Hong Kong, enkoko ezisoba mu mitwalo 2 zittiddwa oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti nyingi zibadde zirina akawuka akaleeta ssenyiga w’ebinyonyi.
Enkoko zino zibadde ziggyiddwa mu ggwanga lya China.
Gavumenti era eweze eby’okuyingiza enkoko mu ggwanga okumala ssabiiti ssatu
Obulwadde bwa senyiga w’ebinyonyi muyite bird flu yatandika okukwata abantu mu mwaka 2013
Embeera yeemu mu ggwanga lya China nga nayo bayisizza amateeka agayimiriza okutambuza enkoko mu bifo ebitali bimu.