Ebyobulamu

E Mulago teri ddagala lya Kokoolo

Ali Mivule

February 10th, 2014

No comments

pateints stranded

Embeera ku ddwaliro lya kokoolo e Mulago yeeralikiriza.

Obadde okimanyi nti buli lunaku abantu bataano beebafa olw’obutabaawo ddagala.

Eddwaliro lino kati kumpi emyezi ebiri nga terifuna ddagala.

Kino kikakasiddwa amyuka akulira eddwaliro lino, Dr Victoria Walukansa

Dr Walukansa agamba nti buli lunaku bafuna abalwadde 150 nga bataano ku bano bafa buli lunaku olw’obutabaawo ddagala.

Abasinze okukosebwa be baana n’abakulu abalina kokoolo w’amabeere, owa nabaana,ow’abasajja n’oyo akwata olususu.

Dr Walukansa ayongerako nti baludde nga baweereza ab’ekitongole ekitereka eddagala ekya National Medical stores naye nga tebabaweereza ddagala

Embeera y’obutabaawo ddagala,yeyoolekera ku bantu abangi abali ku ddwaliro nga bakimye ddagala kyokka nga tebalina kyebabawa.

Bangi balabiddwaako nga bali ku mbalaza batudde naye nga n’abasawo basobeddwa.