Ebyobulamu
Poliyo azzeemu mu Afghanistan
Wabaluseewo obulwadde bwa poliyo mu ggwanga lya Afghanistan mu kibuga Kabul
Omwana omuwaka y’akakasiddwa okuba n’obulwadde buno obwaali bwasemba okulabikako mu mwaka gwa 2001.
Ministule y’ebyobulamu mu ggwanga lino emaze okulagira nti wabeewo kugema abaana bonna
Obulwadde bwa poliyo bukyaali kizibu mu mawanga agatali gamu omuli Pakistan Afghanistan ne Nigera
Mu mawanga gonan aasatu agakyalimu obulwadde buno, kivudde ku bannalukalala okulemesa abagema okubituukamu nga bagamba nti tebakkiririza nti bya bazungu