Ebyobulamu
Mulalama- Gavumenti esitukiddemu
Ministry y’eby’obulamu eyongedde amaanyi mu kulwanyisa omusujja gwamulalama
Omusujja guno gwabaluseewo mu bitundu bya Arua n’ebirala ebya West Nile
Omukungu mu minisitule eno, Paul Kaggwa agamba nti bataddewo akakiiko akagenda okukolagana n’abakungu ba district ezikoseddwa okulaba nti emirimu gitambula
Kaggwa agamba nti balagidde n’abakungu b’ebyobulamu oufuba okulaba nti abasawo enkambi ezinakola ku balwadde
Ono wabula agamba nti nga buli kimu kitambudde bulungi, bajja kusobola okutnagira ekirwadde kino okweyongera kubanga kiwona
Obulwadde buno bwakatta abantu babiri mu bitundu bya Wes Nile