Ebyobulamu

Mulalama akutte abalala

Ali Mivule

February 13th, 2014

No comments

menengitis

Abantu bataano beebawereddwa ebitanda  oluvanyuma lw’okukwatibwa omusujja gwa mulalama.

Bano basiibuddwa mu distulikiti ne Arua ne Adjumani

Ku lunaku lw’okubiri ,minisitule ekola ku by’obulamu yakakasa nti mulalama yali abaluseewo mu bitundu ebya West Nile era ngabantu abawerera ddala 36 baali bamaze okumufuna.

Omwogezi wa minisitule y’eby’obulamu Ruka Nakamatte agamba nti wabula abalwadde abasigaddeyo  bazze baweweera

Nakamatte agamba nti bakola kyonna ekisoboka okutangira ekirwadde kino okweyongerayo mu bitundu by’eggwanga ebirala

Eky’omusujja guno okuddamu okubalukawo kissiddwa kunkola y’okulondoola ebyobulamu obutassibwaamu maanyi.

Minisita akola ku by’obulamu mu gavumenti erinze obuyinza Dr Lulume Bayiga agamba nti obulwadde buno busobola okuziyizibwa