Ebyobulamu
Dr Tamale abyegaanye
Omusawo amanyiddwa mu kujanjaba abakyala Dr Edward Tamale Ssali ebyokuviirako omukyala gwebalongoosa okufa abyeganye.
Ono avunanibwa kuvaako kufa kwa Mercy Ayiru eyamufaako mu ddwaliro lye e Bukoto.
Ono era aganye okukuba ebilayiro nga ali mu kooti era nategeeza nga omukyala ono bweyamwekenenya oluvanyuma lw’okumulongoosa nga ali bulungi.
Agamba ab’enganda z’omugenzi ono bakiriza omuntu wabwe alongosebwe wano mu Uganda mu kifo ky’okutwalibwa e Nairobi gyaaba alongosebwa.
Wabula akkiriza nga omusawo eyasonseka omulwadde oluseke okumusanyalaza bwe yandiba nga yakola ensobi ekyavirako omulwadde ono okufa.
Ono byonna abyejemu bwategezezza nga omusawo eyasanyalaza omulwadde n’eyamulongoosa bweyali akimanyi nti bakugu ku kyebakola kale nga ye tabiliimu.
Dr. Ssali, Rafique Parker ne Dr.Kirya bavunanibwa kulagajalira Ayiru, gwebalongoosa mu 2010 naafa.