Ebyobulamu
Naasi mwamukwata bubi- Abasawo
Ekibiina ekigatta ba naasi n’abazaalisa ssi kisaanyufu olw’engeri ensonga ya Naasi agambibwa okusiiga omwana obulwadde bwa mukenenya gyebukwatiddwaamu
Akulira ekibiina kino Jane Obuni agamba nti omusawo ono baali basobola okumubakwasa n’avunaanibwa mu kifo kyokumutwala mu kkooti y’olukale
Obuni agamba nti kikyaamu okuwulira emisango gy’ekika kino mu lujjudde kubanga abantu bangi banyiiga neboogera ebitali bituufu ebiyinza okutta omusango.
Omwezi oguwedde, Rose Mary Namubiru yakwatibwa nga kigambibwa nti yali agezaako okusiiga omwana ow’emyaka 2 obulwadde bwa mukenenya