Amawulire
Japan ekyebuuza ku bisiyaga
Gavumenti ya Japan etegezezza nga okusala obuyambi ku Uganda olweteeka ly’ebisiyaga bwekitajja kumalawo buzibu ku teeka lino nga era enkolagana y’amawanga abiri esukka ku by’ebisiyaga.
Bwabadde ayogerako eri banamawulire olunaku olwaleero , omubaka wa Japan mu uganda Junzo Fujita, ategezezza nga Japan bwegoberera amateeka g’ensi yonna era nga bakusooka okwebuuza kubanga balina okugassamu ekitiibwa.
Wabula agambye nti uganda yakiriza okuteeka munkola amateeka g’ensi yonna ku ddembe ly’obuntu ,kale nga ebirowoozo by’abantu birina okutekebwamu ekitiibwa.
Gavumenti ya Norway olunaku olwegulo, yategezezza nga bwesazze ku uganda obuwumbi 20 ezbade ezobuyambi ,oluvanyuma lwa pulezidenti Museveni okuteeka omukono ku teeka ly’ebisiyaga.