Ebyobulamu
Omugejjo gulina akakwate ku nzaala
Kizuuliddwa nti abaana abazaalibwa ku kiso emikisa gyaabwe egy’okugejja nga bakuze mingi ddala.
Okuzuula bino, abasawo batunuulidde abaana emitwalo esatu mu kanaana
Abanonyereza okuva mu ggwanga lya Bungereza agamba nti kiba kirungi abakyala nebalabulwa ku bulabe obuli mu kuzaalira ku kiso kubanga obulabe butuuka ne ku baana baabwe
Okunonyereza kuno kwalaze nti ku buli baana 100 abazaalibwa obulungi nga bakadde baabwe tebasaliddwa, 60 ku kikumi bagejjulukuka nga bakuze
Wabula bwegutuuka ku bazaaliddwa ku kiso, ebitundu byambuka okutuuka ku 65