Ebyobulamu

Okuzaala nga bukyaali kirungi mu basajja

Ali Mivule

February 27th, 2014

No comments

Man proposes

Obadde okimanyi nti embeera y’omwana erina akakwate ku myaka kitaawe kw’amuzaalira.

Kati nno bannasayansi bakizudde nti abaana abasinga okwewunika baba bazaalwa ba taata abakuliridde

Mu ngeri yeemu era abaana abazaalibwa abavubuka babeera bajagujagu era nga tebekubagiza

Bannasayansi tebattottodde lwaki kino kiri kiti kyokka nga bagamba nti kyandiba nga kiva ku bavubuka okusiiga abaana baabwe obukujjukujju .

Abaana abazaalibwa abasajja abakuliridde mu myaka kigambibwa okuba nga batera okwewunika nga n’abandi batuuka  n’okwetta

Okunonyereza okuzudde bino kutunuulidde abantu abasoba mu bukadde 2.