Ebyobulamu

Abalwadde mu ddwaliro ekkulu e Masaka bavudde mu mbeera

Ali Mivule

March 3rd, 2014

No comments

Masaka hospt

Abalwadde abasoba mu 100 beebatubiridde ku ddwaliro ekkulu e Masaka oluvanyuma lw’abakulira eddwaliro okuggala ekifo awatuukira abali obubi

Ekifo kino kyaggalwa olw’ebigambibwa nti tekyalina basawo balina bukugu bumala.

Obwedda abalwadde abatwalibwaayo nga basindikibwa mu malwaliro amalala kyokka ng’abamu bekandazze nebagaana okuvaayo nga bagaala kukolwaako.

Omu ku bano ye Ruth Kobusingye abadde atutteyo omulwadde we nebabagoba naye kwekuva mu mbeera ne banne nebekakalakaasa.

Wabula yye addukanya eddwaliro lino Dr Florence Tugumisirize agamba nti abalwadde bano balimba