Ebyobulamu

Abaana okugugumuka kabonero kabi

Ali Mivule

March 3rd, 2014

No comments

night mares

Abaana abato okugugumuka nga beebase bayinza okuba akabonero akalaga nri banditawanyizibwa ku bwongo mu biseera byaabwe eby’omu maaso

Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti yadde abaana abangi bagugumuka, bwekiremera ku mwana kayinza okuba akabonero akalaga obuzibu obusingako

Okuwoggganira mu tulo, n’okwogerera mu tulo bwebumu ku bubonero.

Abanonyereza bano bagamba nti kino kyakubayamba okumanya abo abayinza okugwa eddalu mu bukulu.

Abantu abasoba mu 6500 abekenenyezeddwa okumala okuva nga bato okutuuka ku myaka 12.