Ebyobulamu
Amambulugga gatta obusajja
Abaana bangi balwaala amambulugga nga bato.
Abazadde bangi bwebajjanjaba abaana bano nebawona tebafa ku birala
Kati nno basawo bagamba nti amambulugga gano bwegatuuka mu baana abalenzi gasobola okubaviirako okufuuka ba ssekibotte.
Amambulugga gano nno gakwata mangu era nga gujabagira ssinga gadda mu Muntu emirundi.
Omusawo mu ddwaliro e Mulagi, Dr Charles Kasozi agamba nti amambulugga gano gasobola bulungi okukkirira okutuuka mu bitundu by’omusajja ebyekyama gyebigweera ng’aboose
Amambulugga gazimbya obulago bw’omuntu nekimukalubiriza okubaako ne ky’alya nga kagabe malusu gakaluba