Ebyobulamu
Abakyala tebazaalira ewaka
Ministry y’ebyobulamu esabye abakulembeze ku mitendera gyonna okukubiriza abakyala okukomya okuzaalira ewaka.
Avunanyizibwa ku nnaku z’amaka, Albert Kasozi Lule, agambye nti kibaluma nnyo okulaba nti abakyala ebitundu 35 bokka beebazalira mu malwaliro olwo ebitundu 65 nebazalira ewaka era ekitadde obulamu bwabwe ku mattigga.
Kasozi agambye nti abakyala bandibadde bazaalira mu malwaliro awali abasawo abatendeke tekikyakolebwa nga naye kivudde ku butafaayo bwabakulembeze ku byalo.