Ebyobulamu

Okugoyebwa omwenge tekitegeeza kunywa mulala

Ali Mivule

March 4th, 2014

No comments

hangover

Kikakasiddwa nti omuntu okugoyebwa omwenge  oba kiyite hangover tekitegeeza nti ajja kwanguwa okuddamu okunywa omwenge omulala.

Okugoyebwa kuno tekulina kakwate konna ku kusalawo kw’omuntu okwongera okunywa omwenge oba nedda

Ekibinja ky’abanonyereza okuva mu Missouri babadde baddamu abo abagamba nti omuntu agoyebwa omwenge kimwanguyira okuddamu okunywa omulala era nga kyekivaako bangi okunywa ennyo omwenge.

Ate ekyewunyisa nti begugoya bangi balumwa omutwe n’okunafuwa omubiri kale ng’oluusi bakalubirirwa ddala okudda okunywa

Kino tekikwata ku buli omu kubanga ate waliwo abantu abongera okunywa nga balina endowooza nti kino kibamalako embeera eno.