Ebyobulamu
Okulwanyisa ekikulukuto- Buganda ebiyingiddemu
Obwakabaka bwa Buganda butandise kawefube ow’okulwanyisa ekirwadde kya fistula .
Kawefube ono atongozeddwa Katikiro ngayita mu misinde egyokujukira amazalibwa ga Kabaka, era ng’ensimbi ezinava mu misinde gyino zakulwanyisa ekirwadde kya Fistula.
Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga agambye nti abantu abasinga tebasobola kufuna bujanjabi bwa Fistula ate ngabamu balowooza nti babaloga.
Yo Kampuni ya Airtel ewaddeyo kavu wa bukadde 100 okulwanyisa ekirwadde kino.
Ye Minister wa Buganda ow’ebyobulamu ayongera okunyonyola ku kirwadde kino.