Ebyobulamu
Abasawo tebamala
Abakulembeze mu disitulikiti ye Lwengo bakaba lwa basawo batamala.
Akulira disitulikiti eno, George Mutabaazi agamba nti amalwaliro ga gavumenti mu disitulikiti eno gafuna abalwadde bangi naye nga tebasobola kukolebwaako olw’omuwendo gw’abasawo omutono.
Mutabaazi agamba nti bategeeza ko dda gavumenti ku nsonga yaabwe kyokka nga tebakolebwako
Kyokka ono agamba nti balina essuubi nti omwaka ogujja wegunatuukira nga balowozeddwaako