Ebyobulamu
Omusolo ku sigala gwongezebwe
Abalwanirira ebyobulamu ebirungi eri bannayuganda bagaala omusolo ogugyibwa ku sigala gwongezebwe
Bano balumiriza nti ebbeeyi ya sigala eri wansi nnyo ng’abamunywa banguyirwa okumugula
Akulira omukago gw’okulwanyisa okufuweeta taaba , D.r Prossy Mugyenyi agamba nti kyandibadde kirungi amawanga negakwatiza wamu okulwanyisa omuze guno
Sigala kyakakasibwa nti akola ekikka ku mawuggwe omuntu n’alwaala akafuba ate ng’abamu bafa n’amannyo
Kwo okunonyereza okwakolebwa gyebuvuddeko kulaga nt abazadde abafuuyira sigala ewaka nga waliwo abaana babassa mu bulabe bwokulwaala endwadde ezitali zimu nga bakuze omuli n’eyakafuba
Mu Uganda etteeka erikalubiriza abanywa taaba okukikola lisuubirwa okwanjibwa mu palamenti mu biseera ebitali bye wala.