Ebyobulamu

Siriimu mu bavubuka wakweyongera

Ali Mivule

March 7th, 2014

No comments

Rukahana

Ministule ekola ku byobulamu erabudde nti omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa mukenenya gwolese okweyongera mu baana abato.

Minista akola ku byobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti abavubuka aboogerwaako beebali wakati w’emyaka 24 okutuuka ku 35

Rugunda agamba nti abavubuka bangi abalina emyaka gino tebafa ku bulamu bwaabwe nga bangi tebakozesa bupiira ate nga bakyakaze nnyo

Minista bino abyogedde atongoza akabondo k’ababaka ba palamenti ya Africa akagenda okukola ku nsonga za mukenenya.

Omu ku bakulu ku kabondo kano, Elsie Ayeh, agamba nti bagenda essira okulissa ku bakyala abali embut obutasiiga baana baabwe kawuka