Ebyobulamu
Okuwutta kulwabibwa mu musaayi
Kizuuliddwa nti kisoboka okutegerekeka nti omuntu atandise okuwutta obwongo ssinga bakebera omusaayi gwe
Abasawo okuva mu ggwanga lya America bagamba nti omusaayi gw’omuntu ssinga gubaamu amasavu agaweza ebitundu 90 ku kikumi, olwo abeera mu bulabe bw’okuwutta mu bbanga lya myaka esatu egiddako
Abakugu bagamba nti bakwongera okwekebejja ebizuuliddwa kyokka ssinga biba bituufu olwo obulwadde buno buba bugenda kutuulwa ku nfeete
Abantu abawutta baweza obukadde 44 mu nsi yonna ate nga basuubirwa okulinnya omwaka 2050 wegunaatuukira
Obulwadde buno businga kukwata bantu bakuliridde mu myaka