Ebyobulamu
obulwadde bwa Sukaali bweralikiriza
Obulwadde bwa sukaali bwebwakasinga okuvaako abantu okufa ekikutuko mu bantu abakulu.
Obulwadde buno nno era bwebwakasinga okutta abantu mu nsi yonna era nga mu ugnada ababulina bali obukadde 4.
Kino kiva ku nsonga nti sukaali ayongera obulabe bw’omuntu okufuna obulwadde bw’omutima.
Naye nga obadde okimanyi nti ku bantu ekkumi abafa sukaali, mwenda basobola okutaasibwa
Omukungu mu minisitule y’ebyobulamu, Gerald Mutungi agamba nti omuntu okwekuuma nga ssi munene nnyo, okukola dduyiro okulya obulungo n’okwewala okunywa sigala kisobola okuyambako