Amawulire
Abali mu bifo ebirimu amafuta bakaaba
Akakiiko k’eggwanga akalwanirira eddembe ly’obuntu kafulumizza alipoota namutayiika elambise nga abatuuze abaali bananyini ttaka ewasimwa amafuta mu districts ezenjawulo bwebaliyirirwa obusente obwomunyoto.
Alipoota eraga nga abatuuze bano bwebasulwa wakati million satu n’ekitundu n’omusanvu okusinziira ku bunene n’ettaka werisangibwa.
Abatuuze bagamba zino ssente ntono nyo okusobozesa abatuuze bano okwegulira ettaka ewalala era babafotola.
Alipoota era eraga nga abantu abenyigira mu kusima amafuta mu kitundu kya Albertine bwebali ab’olubatu.
Bwabadde afulumya alipoota eno akola nga Kamissiona w’akakiiko kano , Amooti Katebalirwe asabye ministry ekola ku by’obugagga ebikusike n’amasanyalaze enyonyola ebatuuze engeri gyebaliyiriddwamu okumalawo okwemulugunya.
Okunonyereza kwakoleddwa mu ditricts ssatu okuli Buliisa, Hoima, Nebbi n’endala.